Kilowoozebwa nti Michael Ezra Mulyoowa y’omu ku b’Afirika abasinga bagagga. Ye nanyini SunSpace International, kampuni eyewandiisa mu nsi ya Seychelles, era yeyatandikawo Ezra Track Team Board, ekibiina ekigabira ab’emizannyo obuyambi n’okunoonya abalina talanta. Mugabi wabuyambi amanyiddwa okugabira ab’ebyemizannyo mu nsi ye.

Michael Ezra Mulyoowa

Ebyemabegako mu bulamu bwe

kyusa

Ng’azaalibwa Kampala, Yuganda nga 20 July 1973, Michael Ezra yakiikirirako Yuganda mukukunyuuka emisinde. Yazaalibwa Beatrice Nantongo, Kaminsona wa polisi ya Yuganda eya wummula. Y’owokubiri mu baana abataano ng’alina banyina babiri, Hope ne Beatrice, nebaganda be babiri, Patrick ne Martin. Yasomerako e Kitante Primary ne Makerere College School. Okuva mu 2003 abadde akyankalanya abamawulire e Yuganda, naddala agawandiika oluusi ebyoolugambo, nga bamuwaana era ngabwebamuvuma mu bwekanya. Ensibuko (n’omuwendo gwenyini) y’obugagga bwe kikyaali kyama kye. Ekyobugagga kyasigamu ensimbi yekampuniye SunSpace International. Kigambibwa nti mu Dubai (U.A.E) wokka asizeeyo ensimbi ezissukka mu kawumbi kamu n’ekitundu aka doola z’Amerika, nga nyinji kuzzo ziri mu kuzimba bizimbe.

Mu mawulire

kyusa

Yasooka kulabwibwaako nga agaba obukadde 12 eri aba Yuganda athelitics team nga bagenda mu IAAF World Cross Country Championships e Lausanne, Switzerland.

ETTB yateekawo enkambi z’abaddusi mu Yuganda yonna ng’ekigendererwa kyakunoonya balina talanta. Mu February Maichael ezra baamulemesa okugula eyali klabu ya Plemiya, Leeds United, ku bukadde bwa pawunda 60 nekiletera emigabo gya klabu eno okulinna 14%.

Mu March yayamba abakubi b’ebikonde, nasaasaanya doola z’Amerika nga 500,000 nga tiimu ya Yuganda eyebikonde, The Bombers, eri mu munkambi emyezi mwenda ng’egezaako okwetaba mu 2004 Summer Olympics mu Athens.

Mu June y’etema okusalula Govumenti ya Yuganda obukadde bwa doola 30 okugula ekisaawe kya Yuganda National Stadium (Mandela National Stadium). N’okutuusa essaawa yaaleero Govumenti ya Yuganda tennamuddamu mu butongole.

Mu Oktobba yagaziya ETTB nagyongerako eby’akapiira nasaasaanya obukadde 60 okuweereza tiimu y’eggwanga, The Cranes, eyali ekwamidde lwa bbula lya ssente e Niamey, Niger kumupiira ogusunsula aba Africa Cup of Nations.

Mu Novemba yasasula doola ezissukka mu 250,000 okugula essaawa eyokumukono eya Mont Blanc. Eno essaawa gyebaweesa ng’eri emu yokka mu nsi yonna kyekyali ekivuganyizibwa kunyondo mu nyonyi ya Emirates nga bekulisa emyaka 100 egya kampuni Mont Blanc. Essaawa yamukwasibwa Ow’ekitiibwa Sheik Ahmed bin Saeed Al-Maktoum e Dubai.

Mu Desemba yalondebwa nga omusajja w’omwaaka abasomi ba NewVision, eggulire erisinga obunene mu Yuganda, mu nkola yaabwe eyabuli mwaaka. Yasooka kukwatanga kyakubiri okumala emyaaka ena: okuva mu 2003 okutuuka mu 2005 ne mu 2007; ng’amuwangula yemukulembeze w’eggwanga, Yoweri Museveni.

Mu September yagabura aba Cranes doola 100,000. Kooki yagabana doola 15,000, ababiri abamuyambako bagabana 2,500 bulyomu nazzaako abazannyi 16 beyawa doola 5,000 bulyomu nga bakubye Niger 3-1 mu gw’okusunsula.

Mu Mayi yagenda okulamuza enyonyi A380 mu kampuni enFaransa ezimba enyonyi, Airbus, ngayagala kugyetambulizanga mu yekka.

Mu Julayi yawonera watoto bamufere obukadde bwa doola 5.93. Omufere yali muMerika akozesa yintaneti okubba abantu.

Mu Oktobba ng’alambula Nyayo stadium e Nairobi, Kenya yatemyako ku ba Daily Monitor nti ataddewo doola 650,000 singa aba Cranes beesogga 2012 African Cup of Nations e Equatorial Guinea ne Gabon. Nagattako nti ajja kwongerako doola 50,000 singa bawangula tiimu ya Kenya, Harambe Stars, mugw’okusunsula nga 9 Oktobba e Nairobi, Kenya. Doola 650,000 ng’azigabanye bwati: abazannyi 18 – doola 30,000 bulyomu, kooki – doola 60,000, abayambi ba kooki – doola 25,000 bulyomu, kooki wa kipa – doola 25,000.

Mu Oktobba yasuubiza, ng’omugabwi gwetumanyi, okuwa ba Cranes ekitundu (kimukyakubiri) kya ssente doola 650,000 newankubadde tebayitamu kugenda mu Africa Cup of Nations.

Ebitategeerekeka

kyusa

Mu Agusto 2010, nga yaakadda mu gwanga lye, abamawulire bawandiika nti yali tasasudde musolo oguweza obuwumbi bw’eza Yuganda 1.1 (nga doola 500,000) eri Gavumenti ya Yuganda. Kino kyawaliriza ekitongole ky’emisolo, Yuganda Revenue Authority (URA), okusaba ateekebweko natti y’okutambula n’ebyobugagga bwe. Mukiseera kyekimu kyagambimwa nti Michael Ezra kooti y’ebyensimbi yamulagira asasule ebbanja lya bukadde 430 (nga $195,000), ng’ogasseko amagoba, eri National Bank of Commerce (Yuganda).

Mu Sebutemba 2010, yayita olukungaana lw’amawulire ku wooteli ey’etendo eya Emin Pasha e Kampala nabalaga obukadde bwa doola 3 ng’alinga alaga nti tannaggwaamu nga bwekimuwandikibwako mu mawulire.

Mu Febwali 2011, Michael Ezra yakwatibwa police y’e Kenya. Kyagambibwa nti Ezra yali aziimudde ekiragiro kya kooti okujja yewozeeko kubigambibwa nti yawandiika ceeke ya doola 200,000, eyamera ebiwaawatiro, ng’agiwaandiikidde kampuni emu ennaKenya. Ezra, ng’ayitira mu ba puliida be, yegaana emisango gino. Puliida we yawoza nti kano kaali kasango katono era ng’asobola okuteebwa kukakalu ka kooti. Yayongera okugamba nti Ezra musuubuzi omututumufu era ng’alina n’ebyobugagga bingi mu Kenya nayongerako nti Ezra tebaamukwata wabula yeyetwalayo mu boobuyinza era n’olwekyo tekisuubirwa nti ayinza okudduka. Omulamuzi yamuta kukakalu ka kooti ka bukadde 6 ez’e Kenya ($78,000). Ba puliida ba Ezra bayongerako nti waliyo omusuubuzi omunnaKenya eyali amusibako amatu g’embuzi ng’asuubira okumujjamu ssente zatakoleredde. Mu Julayi 2013, kooti yamwejjereeza emisango gya ceeke ezaabuuka.

Ebitiibwa n’okusiimwa abantu

kyusa

Yeyali Omusajja w’Omwaka wa NewVision (2006) ng’amaze okukwata ekyokubiri emabega w’omukulembeze wa Yuganda okuva mu 2003 oktuusa 2005 n’eddako mu 2007. Ezra ali mu mitima jyabannansi bangi ng’omuzira kulw’ebikolwabye ebyekisa naddala ng’ataasa amatiimu g’eggwanga nga gali mu matigga.

  NODES
HOME 1
Intern 2
languages 1
Note 1
os 1
web 1