Weetegereze:

Satellite

(i) Ekibulungulo (satellite)

(ii)Ekyebulungulo (magnetic or gravitational field)

Ekibulungulo ky’obutonde” (natural satellite)ye seng'endo entono eyetoloola seng'endo ennene eri mu nsengekera (system) ya seng’endo ennene oba giyite senkulungo.

Mu bungi ekibulungulo kiyitibwa bibulungulo (satellites) ate ekyebulungulo (field) ne kiyitibwa ebyebulungulo (fields) mu bungi. Waliwo ebibulungulo ebikolebwa omuntu naddala ebyo ebikolebwa mu byuma bikalimagezi ebyetoloola nga byebulungula enkulungo oba omwezi, naddala okukozesebwa mu mpuliziganya ku nsi.

Ebibulungulo by’obutonde ebyetoloola nga byebulungula enjuba biyitibwa nkulungo (planets) ate ekibulungulo ky’obutonde ekyetoloola nga kyebulungula enkulungo kiyitibwa omwezi.

Ensi yaffe erina omwezi gumu gwokka oguyitibwa omweezi gwa kaluuna (lunar moon), kyokka enkulungo endala zirina emyezi mingiko. Buli nkulungo eri mu mugendo ogutakoma okwetoloola enjuba yaayo okumalako ebbanga lya mwaka ate era ne yetoloola ku “kisiisi” (axis) kyayo okumalako olunaku awatali kuyimiriramu. Enkulungo y’Ensi yetoloola enjuba okumalako ennaku 365 ate ne yetoloola ku kisiisi kyayo okumala essaawa abiri mu nnya (olunaku lumu).

Kakensa Johannes Kepler yakizuula nti enkulungo mu nsengekera yazo, enjuba zigondera amateeka gano:

(i) Enkulungo zetoloola (orbit) enjuba mu kiripuso (ellipse), so si mu ntoloozo (circle) yennyini nga bwe kyali kirowoozebwa okusooka. Enjuba ebeera wakati mu kiripuso kino. Kino kitegeeza nti buli nkulungo waliwo ekiseera w’ebeerera okumpi ennyo n’enjuba. Enkulungo bweba eri kumpi n’enjuba edduka emisinde mingiko okusinga ng’eri walako nayo olw’ okuba nga okuliraana enjuba akanyigirizo (pressure) keyongera okukka, ekintu ekiddusa enjuba okusingako.

(ii) Enkulungo gy’ekoma okuba ewala okuva ku njuba yayo gy’ekoma okulwaawo okumalako okwetoloola kwayo era gy’ekoma okuba n’omwaka omuwanvu. Kitegeeza nti buli nkulungo erina obuwanvu bw’omwaka bwa njawulo okuva ku ndala.


Template:Charles Muwanga

  NODES
HOME 1
languages 1
Note 1
os 2
web 1