Template:Infobox monarchKamaanya Kadduwamala yali Kabaka w'Obwakabaka bwa Buganda okuva mu 1814 okutuusa mu 1832. Yali Kabaka wa Buganda ow'abiri mw'omunaana (28th).

Okutuuzibwa ku Nnamulondo

kyusa

Ye yali mutabani omukulu owa Kabaka Semakookiro Wasajja Nabbunga, Kabaka wa Buganda, eyafugira wakati w'omwaka 1797 ne 1814. Maamawe yali Abakyala Nansikombi Ndwadd'ewazibwa, Kaddulubaale, ow'ekika ky'e Nseenene (Grasshopper). Yali mukyala wa Kabaka omukulu. Taatawe yawasa abakyala kkuminabataano. y'atuuzibwa ku Nnamulondo oluvanyuma lwa Kitaawe okuseerera mu 1814, kwe kufuna elinnya lya Kamaanya. Amakanda yasalawo kugasimba mu Nsujjumpolu.

Obulamu bwe obw'obufumbo

kyusa

Nga kitaawe, Kabaka Kamaanya yalina abakyala bangi.Kigambibwa nti yawasa abakyala abawera asatu mw'omunaan (38):

  1. Baakuyiira, muwala wa Lule, ow'ekika ky'e Ngonge
  2. Basiima Mukooki, muwala wa Kateesigwa, ow'ekika ky'e Nkima
  3. Gwowemukira
  4. Kayaga, muwala wa Kiwaalabye, ow'ekika ky'e Kkobe
  5. Kisirisa, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe
  6. Naabakyaala Saamanya, Kaddulubaale, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe. Yattibwa ku biragiro bya Bba.
  7. Ky'osiby'omunyolo, muwala wa Jjumba, ow'ekika ky'e Nkima
  8. Kyot'owadde, muwala wa Kiyaga, ow'ekika ky'e Mamba
  9. Kyowol'otudde, muwala wa Lutalo, ow'ekika ky'e Ndiga
  10. Lubadde, muwala wa Majanja, ow'ekika ky'e Ngeye
  11. Mpozaaki, muwala wa Kateesigwa, ow'ekika ky'e Nkima
  12. Mubyuwo?, muwala wa Nakatanza, ow'ekika ky'Olugave
  13. Muteezi, muwala wa Nakato, ow'ekika ky'e Mbogo
  14. Mukwaano, muwala wa Mugema, ow'ekika ky'e Nkima
  15. Nambi, muwala wa Lutaaya, ow'ekika ky'e Ngonge
  16. Naabakyaala Nabikuku, the Kabejja, muwala wa Jjumba, ow'ekika ky'e Nkima
  17. Nabirumbi, muwala wa Kisuule owa Busoga, ow'ekika ky'e Ngabi (Reedbuck)
  18. Nabiswaazi, muwala wa Jjumba, ow'ekika ky'e Nkima
  19. Nabyonga, muwala wa Mwamba?, ow'ekika ky'Olugave
  20. Nabbowa, muwala wa Kafumbirwango, ow'ekika ky'e Lugave
  21. Nakaddu, muwala wa Kamyuuka, ow'ekika ky'e Kkobe
  22. Nakanyike, muwala wa Senfuma, ow'ekika ky'e Mamba
  23. Nakkazi Kannyange, muwala wa Ssambwa Katenda, ow'ekika ky'e Mamba
  24. Nakkazi, muwala wa Lutalo, ow'ekika ky'e Mamba
  25. Nakku, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe
  26. Nakyekoledde, muwala wa Gabunga, ow'ekika ky'e Mamba
  27. Nalumansi, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe
  28. Namale, muwala wa Kiwalabye, ow'ekika ky'e Kkobe
  29. Namukasa, muwala wa Nankere, ow'ekika ky'e Mamba
  30. Namawuba, muwala wa Sempala, ow'ekika ky'e Ffumbe
  31. Nambi Tebasaanidde, daughter of Mugula, ow'ekika ky'e Mamba
  32. Namwenyagira, muwala wa Kamyuuka, ow'ekika ky'e Kkobe
  33. Nannozi, muwala wa Gomottoka, ow'ekika ky'e Nvubu
  34. Nankanja, muwala wa Terwewalwa, ow'ekika ky'e Nvubu
  35. Nzaalambi, muwala wa Natiigo,ow'ekika ky'OLugave
  36. Siribatwaalira, ow'ekika ky'e Nkima
  37. Tebeemalizibwa, muwala wa Mwamba?, ow'ekika ky'Olugave
  38. Nanteza

Ensonga

kyusa

Kiri ku likodi nti yazaala abaana abalensi nkaaga mu omu (61) n'abawala abawerako. Mutabani we Suuna II, yatemula baganda be abalenzi ataano mu munaana (58) ku mulembe gwe. Abaana ba Kabaka Kamaanya:

  1. Omulangira Kiggala I, maamawe yali Baakuyiira
  2. Omulangira Nakibinge Bawuunyakangu, nga maamawe yali Saamanya. Yattibwa nga ayokebwabwokebwa ku biagiro bya kitaawe mu Busonyi, Ssaza ly'e Busujju.
  3. Omulangira Kimera, maamawe yali Gwowemukira
  4. Omulangira Ndawula, maamawe yali Gwowemukira
  5. Omulangira Lule, nga maamawe yali Gwowemukira
  6. Omulangira Kiggala II, nga maamawe yali Gwowemukira
  7. Omulangira Kitereera, nga maamawe yali Gwowemukira
  8. Omumbejja Babirye, nga maamawe yali Kayaga. Omulongo n'Omumbejja Nakato
  9. Omumbejja Nakato, nga maamawe yali Kayaga. Omulongo n'Omumbejja Nakato
  10. Prince (Omulangira) Kaggwa, whose mother was Kisirisa
  11. Omulangira Bagunyeenyamangu, nga maamawe yali Saamanya
  12. Prince (Omulangira) Mbajjwe, whose mother was Ky'osiby'omunyolo).
  13. Omulangira Bamweyana, nga maamawe yali Kyootowadde
  14. Omulangira Twaayise, nga maamawe yali Mpozaaki
  15. Omulangira Kyomubi, nga maamawe yali Mukwaano
  16. Omulangira Luwedde, nga maamawe yali Nabiswaazi
  17. Omulangira Kimera, nga maamawe yali Nabbowa
  18. Omulangira Lumansi, nga maamawe yali Nakaddu
  19. Omulangira Tebandeke, nga maamawe yali Nakanyike
  20. Omulangira Suuna Kalema Kansinjo, eyasikila Kabaka Suuna II Kalema Kansinjo Mukaabya Ssekkyungwa Muteesa I Sewankambo Walugembe Mig'ekyaamye Lukeberwa Kyetutumula Magulunnyondo Lubambula Omutanda Sseggwanga, nga maamawe yali Nakkazi Kannyange
  21. Omulangira Wasajja, nga maamawe yali Nakkazi. Yasimatukka okusanjagibwa kwa mugandawe, Suuna II.
  22. Omulangira Ndawula, nga maamawe yali Nakyekoledde
  23. Omulangira Mutebi, nga maamawe yali Nakyekoledde
  24. Omulangira Mugogo, nga maamawe yali Kyotowadde. Naye y'asimatukka okutibwa mugandawe, Suuna II.
  25. Omulangira Kigoye, nga maamawe yali amale
  26. Omumbejja Ndagire I, nga maamawe yali Namukasa
  27. Omulangira Waswa, nga maamawe yali Nambi Tebasaanidde. Mulongo ne Babirye.
  28. Omumbejja Babirye, nga maamawe yali Nambi Tebasaanidde. Twin with Babirye
  29. Omulangira Kajumba, nga maamawe yali Nambi Tebasaanidde
  30. Omumbejja Ndagire II, nga maamawe yali Nannozi
  31. Omulangira Kizza, nga maamawe yali Nzaalambi
  32. Omumbejja Tajuba, nga maamawe yali Lubadde. Yafa oluvanyuma mu 1927.
  33. Omumbejja Nassolo, nga maamawe yali Mubyuwo?
  34. Omumbejja Nambi, nga maamawe yali Muteezi
  35. Omumbejja Nakayenga, nga maamawe yali Kyowol'otudde
  36. Omumbejja Namayanja, nga maamawe yali Lubadde
  37. Omumbejja Nabaloga, nga maamawe yali Mpozaaki
  38. Omumbejja Kagere, nga maamawe yali Mubyuwo
  39. Omumbejja Mwannyin'empologoma Nassolo, nga maamawe yali Nabikuku
  40. Omumbejja Nalumansi, nga maamawe yali Nabirumbi
  41. Omumbejja Nakku, nga maamawe yali Nabyonga
  42. Omumbejja Nakalema, nga maamawe yali Nalumansi
  43. Omumbejja Nakangu, nga maamawe yali Nambi
  44. Omumbejja Namika, nga maamawe yali Nakaddu
  45. Omumbejja Nakabiri, nga maamawe yali Namwenyagira
  46. Omumbejja Katalina Nabisubi Mpalikitenda Nakayenga, nga maamawe yali Siribatwaalira. Yazaalibwa mu 1814. y'afa nga 27 Ogusooka 1907.
  47. Omumbejja Lwantale, nga maamawe yali Siribatwaalira. Yali Naalinnya wa Kabaka Suuna II. Yafa mu Gwokusatu 1881.
  48. Omumbejja Nagaddya, nga maamawe yali Tebeemalizibwa
  49. Omumbejja Nassuuna Kyetenga, nga maamawe yali Nankanja

Obukulembeze bwe

kyusa

Kabaka Kamaanya yagenda mu maaso n'olutalo olw'okuwamba Obwakabaka obw'okumuliraano ekyaleetawo okugaziya amatwale g'Obwakabaka bwa Buganda. Yawamba Essaza lya Buweekula, okuva ku Bunyoro era n'aligatta ku lya Buganda.

Emyaka gye egy'asembayo

kyusa

Kabaka Kamaanya yasererera ku Lutengo 1832. Yaterekebwa e Kasengejje, mu Busiro.[1]

Ebiwandiiko

kyusa

Kigambibwa mbu elinnya lya Kamanya etuufu ly'ali Kanakulya Mukasa. Naye olw'okuba yali w'attabu nnyo, abaamuli ku lusegere batandiika okumugerageranya ku muntu w'obungu obw'ettumbizi era ow'enkola ey'okuyigannya abalala (nga mu kukikusika eri Kabaka) kwe kumutuuma kamanya.

  • MM Semakula Kiwanuka, Ebyafaayo bya Buganda, 1971[2]

Olukangagga lw'abakabaka abasikira Nnamulondo

kyusa

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa

Template:Kabaka of Buganda

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2024-04-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. Kiwanuka, MM Semakula, A History of Buganda: From the foundation of the Kingdom to 1900. London: Longman, 1971
  NODES
Note 1